Acts 13

Balunabba ne Sawulo batumibwa

1 aMu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 2 bAwo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” 3 cAwo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.

4 dAwo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. 5 eBwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.

6 fNe bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. 7 gYayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8 hNaye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. 9 iNaye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 10 jn’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 11 kKaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”

Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono.
12 lAwo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.

Balunabba ne Pawulo mu Antiyokiya eky’e Pisidiya

13 mAwo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. 14 nKyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro. 15 oEbitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”

16 pAwo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize! 17 qKatonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi, 18 rn’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu. 19 sN’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe, 20 tokumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano.

“Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri.
21 uAwo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana. 22 vNaye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’

23 w“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. 24Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya. 25Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’

26 x“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 yAbabeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 zTebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 aaBwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 abNaye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 acEra abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.

32“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,

“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 adKubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:

“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 aeNe mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,

“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 af“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.

38 ag“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 ahBuli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:

41 ai“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 ajAwo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 akAbayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.

44Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 alNaye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 amAwo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 anKubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,

“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
48Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.

49Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 aoNaye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 apAbatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.

Copyright information for LugEEEE